1 Corinthians 10

Okulabula ku Bakatonda Abalala

1 aAbooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 4 bera bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. 5 cNaye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.

6Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. 7 dTemusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” 8 eTetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. 9 fEra tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 gEra temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

11 hEbyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 iKale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 13 jTewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

14Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 16 kEkikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 17 lKubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.

18 mMulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? 19 nKale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 oNedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 pTemuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.

22 qOba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 rByonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 sOmuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.

25 tMwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 uKubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.

27 vSinga omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 wKyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 xbwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 yBwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?

31 zKubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 aaTemukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 abNange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.

Copyright information for LugEEEE